MESUSERA KAMYA: Empagi Enkulu Eyalwanilira Ekitiibwa Kya Buganda
Mubwaaguuga bwo’bwakabaka bwa Buganda bwona, mukitiibwa ekibuvumbekedde okuzaama okuva ebule n’ebweeya, muzze mubelamu abasajja ebikonge ab’esigamwaako.
Mesusera Kamya zezimu kumpagi
enkulu ez’aweleeza n’obwesimbu ela nga z’esigamwaako nnyo okuzimba n’okutumbula
kino ekitiibwa kya Buganda ekyaava edda.
Kamya yali mutabaazi,
omulwaanyi namigge, omujaasi engwanguli, omukulembeze alengela ebili ewala, ela
omukessi ow’ekyaama owa Bakabaka abenjawulo mu byafaayo bwe Buganda.
Obuganda webwaali wakati
munkyuukakyuuka, ba Kamya be balwaana okulaba nga Obuganda tebusulibwa omuyaga
ogwaali gubulumbye. Wuliriza ebyafaayo bya Buganda ebinyuma okukamala,nga kwogasse n'ezimu kuntalo Kamya zeyalwaana ne banne; nga Katikiro Honorato Nnyonyintono, Alex Ssebowa, Stanislaus Mugwanya, Sir Apollo Kaggwa, n'abalala.
Kamya yaweleeza mumulembe
ogwabasekabaka Mwanga II, Kiwewe, Kalema, Chwa II ne Muteesa II. Ela yafuna
ebitiibwa kubakabaka be benyini ne government ez’enjawulo zeyawelezaamu. Kamya
yatakabana nnyo ela agwaanye okumanyibwa n'okujjukilwanga lubelera.
Afrika, Kalyabe Peter (Author), Afrika, Kalyabe Peter (Narrator)
Audiobook